Okutoloka Kwa Ssekabaka Muteesa II
Okuva Mu Lubiri e Mmengo


Ebimu ku byawandikiibwa Timothy Ntanda owa Njuba Times mu katabo akaafulumizibwa mu mwezi gwa Muzigo 25-27, 1999, nga atutusaako mu bujjuvu ebyo ebyannyumizibwa Omugave Major Joshua Katende emyaka musanvu emabega nga atottola ebyo ebyaliwo mu nnaku 30 nga Ssekabaka Muteesa II yakamala okuva mu Twekobe n'okutoloka mu Lubiri nga awenjebwa amagye ga Obote.

Major Joshua Katende yagamba bwati. "Mu kiro ekyakeesa olwa Muzigo 24, nnali ku mulimu n'abaserikale abaali 90, nga mu bo mwalimu abaali bateereddwa ku miryango ogwa Wankaaki, Kalaala, Ssaabagabo ne Nnalongo. Waaliwo ebibinja by'abaserikale ebyali mu kulawuna ate ebirala nga birindiridde okuliivula bannaabwe".

"Mu kiseera kino, ffena twali tuduumirwa omugenzi Benedicto Kibirige, nga nze muddirira ate ne kuddako Abraham Senkoma. Ssabasajja ye yali mu Twekobe era ffena twawuliziganyanga ku ssimu ez'omunda mu Lubiri".

"Ku ssaawa 8.00 ezekiro, nnali mu kulawuna ku ludda lw'omulyango Nnalongo ne tusobola okulaba loole z'amagye nga zitandise okwetoloola olubiri. Ku ssaawa 10.00 ez'ekiro ne batandika okuva ku loole mu ngeri ey'okwetegekera okulumba".

"Wano we twafunira essimu ey'omunda okuva ku muserikale Sengendo ayali akuuma Wankaaki, natutegeeza nga abajaasi bwe baali bamaze okumenya oluggi lwa Kalaala".

Ku ssaawa 11.30 amasasi gaatandika okuvuga nga gava ku ludda lw'amasomero ga Lubiri Secondary School, ne ku ofiisi y'omukuumi w'olubiri eyali okumpi ne Wankaaki era ne zigendera ddala mu maaso n'okuvuga nga abaserikale bakuba buli muntu gwe balaba olwo ennyumba ez'essubi ne zikwata omuliro".

"Omuzinga ogw'amaanyi gwakubwa ku TWEKOBE, era wano we nnatuukira ku Ssekabaka nga amaze okwambala".

"Mu kiseera kino twali mu kaseera kazibu, olw'amasasi agaali gavuga ennyo nga n'ennyumba ziteta. Nnalina okulaba nga nkuuma Kabaka mu ngeri ey'enjawulo era ne mmutwala mu kati akayitibwa 'Kafugankande' akaali akaziyivu obulungi nga kali ku ludda lw'Obugwanjuba bw'Olubiri".

"Mu kati kano, twamalamu ekiseera kiwanvu nga tulaba ebyali bigenda mu maaso. Ebbanga eryo lyonna nnali noonya amagezi agaali gayinza okuggya Kabaka mu Lubiri".

"Wano nnafuna obuzibu bunene nnyo, kuba abantu abasinga baali bajudde okutya, kyokka nga Kabaka mugumu nnyo era nga munakuwavu era buli kaseera yanngambanga tweyongere okulwana, kyokka nze ne mmutegeeza nti kye tukozeeko kimala, era nga kino nnakimuddamu emirundi egiwera kyokka nga alabika tayagala kukkiriza".

"Oluvannyuma yansaba emmundu ye 416 gye nnali nkutte nga ekiseera kyonna yali tannaba kugyeyambisa, era nnali n'akagimukwasa bwe'enti, ekire kye nkuba kyetutaamanya gye kyava ne kiyiika omulundi gumu olwo emmundu ne zisirikirira".

"Essaawa zaali ziweze nga 10.00 enkuba n'esamukka, era wano Katonda we yampeera amagezi agaamangu ne nsaba abasajja abawera, tufulumye Kabaka ebweru w'Olubiri nga tweyambisa amadaala aga "sewajjuba".

"Kabaka yalwawo okukiriza, kyokka ne mwetayirira nnyo, nti nnina okumufulumya era wano we yalabira abaserikale abaali beetawula ebweru, n'akuba esasi limu abaserikale ne babulawo, olwo nalyoka abuuka n'agwa ebweru olwo naffe ne tugoberera".

"Twatambula nga tuyita ku nnyumba z'omugenzi Kisosonkole, ne tugguka mu Ndeeba gye twagwira ku mmotoka eyali egenda e Masaka ne tugiyimiriza etutwale e Lubaga. Ssekabaka, Maalo nange twayingira mu mmotoka eno n'etutuusa e Lubaga ku kigo ku ssaawa 12.00 ez'olweggulo".

"Nga tutuuse e Lubaga, twayayanirizibwa Omugenzi Kalidinaali Nsubuga eyayagala okuwa Ssabasajja caayi kyokka n'amutegeeza nti yali takyayinza kunywa caayi era n'amusiibula".

"Mu kumusiibula, Kalidinaali yasabira Kabaka omukisa n'amukwasa Sapuli eriko ekifaananyi kya Bikira Maria, gye nkyakuuma n'okutuusa kati, olwo ne tuyitira emmanju ne tugwa mu lugudo olugenda e Lungujja ne tutuuka e Bulange ew'omugenzi Nsibambi".

Akaseera ke twamala wano, twali tuliimisa oluguudo olugenda e Ssentema era obudde bwe bwakunira twavaawo ne tusala ekkubo ne tutuuka ew'omugenzi Rev. Kigozi gye twasula kyokka nga twasula amatu gatuli bweru. Mu matulutulu, nga 25 Muzigo (May), twafuluma nga tetusiibudde ne tutambula nga twolekedde e Sentema kwe kusanga Mw. Dan Kamaanyi ne twevumba mmotoka ye ne twolekera Ssentema nga tugezaako okunoonya ekkubo.

Nga tetunnatuuka Ssentema, olwo ne tuva mu mmotoka ne tuyita mu makubo agamawunjuwunju ne tugguka ku mugga Namududuma ogwali gubotoddwa, kyokka nga twali tukyalowooza eky'okukola ne wajjawo omusajja eyali atwala oluggi e Ssentema naluwaayo ne tulusaawo emmotoka n'esomoka. Wano mmotoka yatutwalako katono ate ne tugivaamu nga twewala okugwa ku balabe n'egenda etulinda e Buloba, ne tukwata obukubo obwamawunjuwunju obwatuggusa ku mugga Mayanja ate oluvannyuma ne tulinnya mmotoka ne tuyita e Nswanjere ne tutuuka mu maka g'omugenzi Kisaliita mutabani w'omugenzi Stanisilas Mugwanya agali e Bulamazzi olwo ne twolekera Masaka.

Bwe twatuuka ku babumbi Lungala ne tuyita mu kagga ne tuggukira e Mbale awali omuti gwa Kibuka Omumbaale era bwe twatuuka e Mayembegambogo, Kabaka kwe kuntuma ku Ggombolala okulaba oba waliyo eyali ayinza okutuyamba kyokka nga lyonna lyali lisigadde ttayo.

Nga tukutte olwe Kabasanda, twayitira e Lukalu Kimbugu ne tutuuka ku mbuga ya Katambala gye twasanga omusigire we Haji Suleyimani Lubega eyatutuusa ewa Kitawe Ibrahim Lubega era nga wano we twagendera mu bibbo era we twasula.

Enkeera nga Muzigo (May) 26, awo twavaawo ne tutwalibwa ewa muto wa Lubega eyali ayitibwa Kamoga ekibanja kye nga kisimbidde ddala ku kisaalu, era nga eno Kitunzi Nafutali Musoke, Luwekula, Israel Kasagira gye baasanga Ssekabaka ku ssaawa 11.00 ez'olweggulo n'abategeeza nga bwe yali ayagala okusomoka Katonga.

Oluvannyuma, twasomoka ne tuyitira e Sembabule mu maka ga Sebasitiyane Kitayimbwa eyali Owesaza eyatulabula nti mu kabuga k'e Ntuusi ku lugenda e Lwemiyaga waaliwo abaserikale n'atulagirira tugende ew'omukazi Nnalongo e Lugusulu mu lukoola eyo twatuukayo ku ssaawa 2.00 ez'ekiro. Wano twasuzibwa mu kayumba k'abaana ba Nnalongo akaali katannaba kuggwa nga emiryango gyako gisibiddwamu essanja era nga muno ffena ne Nafutali, Kasagira ne Kitayimbwa mwe twasula.

Enkera ku lwa 27 Muzigo (May) Dan Kamaanyi twamuta agende n'emmotoka ye naffe tusigale ku lwaffe. Ekitundu kino Kabaka yali akimanyi bulungi era yaleeta ekirowoozo tugende mu lukoola awaali wali amayinja amawaanvu kwe twali tuyinza okulinnya ne tulengera ebitundu ebisinga ebya Ankole ne Buganda , era ku luno twasula mu kasaka era twasiibirira mpirivuma na bukansokanso olw'obutabaawo kya kulya.

Mu kiro ekyakeesa olwa 29 Muzigo (May), twasimbula ku ssaawa 10.30 ez'ekiro ne twolekrea olukoola era nga ku mulundi guno twanoonyayo akasaka akalala ne tukalongoosa era nga kano Ssekabaka ke yatuuma "Bulange" oluvannyuma ne tuddayo mu maka ga Nnalongo gye twabeerera ddala okutuusa ku lwa 22 Ssebaaseka (June).

Twali tuli awo Kitayimbwa, Kasagira ne Matovu ne batuuka wakati w'essaawa 3 ne 4 ez'ekiro ne balabula Kabaka nti aba Gavumenti baali bamaze okumanya nti ali mu kifo ekyo, era wano twasitulirawo ne tukwata olw'e Lwemiyaga okutuusa lwe twatuuka ku mugga ogwawula Buganda ne Ankole ne tugusomoka olwo ne tusiibula Buganda.

Entegeka ya mmotoka ey'okututuusa e Kabale Kigezi ekoleddwa era yatuggyawo n'etutwala ne tuyita e Mbarara ne tugendera ddala e Kabale, kyokka bwe twali twakava mu mmotoka ne twekanga Land Rover eyalimu abaserikale, ne twekuba ensiko Ssekabaka gye yeekubira akakongovvule.

Okuva awo twatwalibwa ew'omusuubuzi w'amaliba eyali yeesudde mayiro 5 oba 6 okuva e Kabale gye twasuzibwa mu sitoowa y'amaliba eyali ewunya ennyo ekivundu. Ssekabaka twamwalirira essubi n'assaawo ekikooti ekikadde ekyamuweebwa Kisaliita e Bbulamaazi ne yeebaka.

Awo we twava ku lwa 23 Ssebaaseka (June) ne twolekera ery'e Kisolo ku nsalo, twali tumaze okujjuza empapula za kasitomu nga tutaddeko amannya amapatiike nga Ssekabaka yetuumye Kikabugo, Maalo nga ye Gatalimawule nange nga nze Guweddeko.

Ensonga gye twawa eyali etutwala e Bujumbura, yali nti twali tugenda kunoonya banaffe abasuubuzi abaali bagenze ennaku ssatu eziyise kyokka nga kati ennaku ziri mu 5 nga tetubalaba. Ku nsalo nayogera Oluswayiri olumenyefumenyefu era oluvannyuma baatukiriza okuyitawo.

We twatuukira mu kibuga Bukavu nga kiri matongo olw'entalo ezaali zikibaddemu era wano twanyawo mafuta gokka ne tweyongerayo ku nsalo we twatuuka ku ssaawa 12.00 ezakawungeezi. Kyokka abaserikale bo ku ku nsalo batugaana okweyongerayo okutuusa nga obudde bukedde nga batutiisa okugwa mu batemu olw'obutabanguko.

Ku lwa Ssebaaseka (June) 24, ku maliri nga tugendera wamu n'abaserikale ba Burundi abakuuma ensalo twawulira eddembe bwe batuggulirawo ne tuyingira mu Burundi ne tugenda butereevu mu wooteri eyali okumpi n'olubiri lwa Umwami gwe baatutegeeza amangu nti yali agenze mu Geneva kyokka nga oluvannyuma gavumenti yatutumira Minisita w'ebyensimbi eyatuyamba ennyo.

Oluvannyuma lw'omubaka wa Bungereza okujja mu wooteri omwali Ssekabaka, n'abamawulire omwali gwe nzijukira nga ye Alen Chester eyali akiikirira olupapula lwa East Afican Standard naye yajja olwo amwulire ne gatandika okusaasaanira ensi nti Kabaka yali mulamu.

Nga empapula ezaali zitutuusa mu Bungereza ziwedde, ku lwa Ssebaaseka (June) 28 ffensatule, Ssekabaka Muteesa, Maalo, nange twalinnya ennyonyi y'omusajja Omumerika eyali mukwano gwa Muteesa nga eno ye yatutuusa mu Bufaransa gye twasanga Omulangira Henry Kimera nga apangisizza ennyonyi, kyokka Ssabasajja yasalawo okulinnya ennyonyi eyali ewerezeddwa Gavumenti ya Bungereza era kw'olwo ne tutuuka mu Bungereza okutandika obulamu obuggya.

Enkeera ku lwa Ssebaaseka (June) 29, Ssekabaka yagenda ku ssomero Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II gye yali asomera gye yamusanga nga ali mu mizannyo n'amutegeeza byonna ebyali bimutuuseeko."

Omugave Major Joshua Katende atunyumirizza akowonvu n'akagga, emirimu gye tegyakoma ku Ssekabaka Muteesa. Mu mirimu egikolebwa ab'ekika ky'Olugave ewa Kabaka, kaakati ye mutuuza wa Ssaabasajja Kabaka Muwenda Mutebi II.


Return To: | Top Of This Page | The 1966 Crisis | Reconstruction of Twekobe |
| Window on Mmengo | Buganda Home Page |